Mukama yawa abantu obuyinza ku nsi
Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.” (Olubereberye 1:28)
Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo: byonna wabissa wansi w’ebigere bye, (Zabbuli 8:6)
Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama, naye ensi yagiwa abantu bonna. (Zabbuli 115:16)
Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti, “Omuntu kye ki ggwe okumujjukira? Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo? Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono, wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo, n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.” Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. (Abaebbulaniya 2:6-8)
Olugero oluraga Mukama okuwa abantu obuyinza ku bintu bye
“Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa n’olugero lw’omusajja eyali agenda olugendo, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye. (Matayo 25:14)
Ekifo kyaffe kye ky'omuwanika
Eby'okulabirako by'abawanika
Awo Ibulayimu n’agamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange (Olubereberye 24:2)
Awo Yusufu n’aganja nnyo mu maaso ga mukama we, n’amulabiriranga, n’amufuula omukulu we nnyumba ye ne byonna bye yalina. Okuva olwo Mukama n’awa omukisa ennyumba y’Omumisiri olwa Yusufu. Omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, mu nnyumba ne mu nnimiro. Awo Omumisiri n’ateeka byonna mu mikono gya Yusufu. Yusufu n’avunaanyizibwanga byonna okuggyako emmere mukama we gye yalyanga. Kyokka Yusufu yali mulungi nnyo, mubalagavu. (Olubereberye 39:4-6)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw’ebbanga eriwerako, mukyala wa mukama we namutunuulira n’okwegomba era n’amugamba nti, “Weebake nange.” Naye Yusufu n’agaana, n’agamba mukazi wa mukama we nti, “Laba, mukama wange yankwasa byonna ebiri mu nnyumba, n’abiteeka byonna mu mikono gyange, era tewali n’omu ansinga mu nnyumba ye, tewali na kimu ky’atankwasa okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Kale nnyinza ntya okuyingira mu kwonoona okwenkanidde awo n’okusobya eri Katonda?” (Olubereberye 39:7-9)
Kubanga bwe mbuulira Enjiri olw’okweyagalira, mbeera n’empeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo. (1 Abakkolinso 9:17)
Abawanika balina obuvunaanyizibwa obumu
Kkiriza Mukama nga nannyini bintu era omukwase obwannannyini
Olina okukwasa Mukama obwannannyini bw'ebintu okubeera omuyigirizwa
Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna by’alina, tayinza kuba muyigirizwa wange. (Lukka 14:33)
Okuleka byonna okugoberera Mukama kuleeta emikisa
Awo Peetero n’abuuza Yesu nti, “Ffe twaleka byonna ne tukugoberera. Kale ffe tulifuna ki?” Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana w’Omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri. Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olw’erinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo. (Matayo 19:27-29)
Awo Peetero n’agamba Yesu nti, “Tweresa byonna ne tukugoberera.” Yesu n’amuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri, ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo. (Makko 10:28-30)
Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!” Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda, atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.” (Lukka 18:28-30)
Eby'okulabirako eby'okuleka byonna okugoberera Mukama
Amangwago n’abayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bagoberera Yesu. (Makko 1:20)
Amaato gaabwe olwagoba ku lubalama ne baleka awo byonna ne bagenda naye. (Lukka 5:11)
Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’avaayo n’alaba omusolooza w’omusolo, erinnya lye Leevi ng’atudde omusolo we gukuŋŋaanyizibwa, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Leevi n’aleka awo byonna, n’asitukiramu n’amugoberera. (Lukka 5:27-28)
Olugero oluraga okuleka byonna okugoberera Mukama
“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo. “Ate era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omusuubuzi w’amayinja ag’omuwendo omungi eyali anoonya amayinja ag’omuwendo, bwe yazuula ejjinja erimu ery’omuwendo n’agenda n’atunda bye yalina byonna n’aligula. (Matayo 13:44-46)
Beera mwesigwa
Ate era omuwanika kimugwanira okuba omuntu omwesigwa. (1 Abakkolinso 4:2)
Emikisa gy'obwesigwa
Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi, naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa. (Engero 28:20)
Noolwekyo nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.” “Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu? Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo. (Matayo 24:44-46)
Aweebwa omukisa gw'okussa ekimu okw'okumpi ne Mukama
“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’ (Matayo 25:21)
Aweebwa omukisa gw'obuvunaanyizibwa obusingawo
Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano n’ajja n’amuleetera ttalanta endala ttaano ng’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano.’ “Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’ “Eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’ajja, n’ategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’ “Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’ (Matayo 25:20-23)
Mukama waffe n’addamu nti, “Omuweereza oyo omwesigwa era ow’amagezi ye aluwa mukama we gw’alikwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaweereza be n’okugaba emmere mu kiseera ekituufu? Alina omukisa mukama we bw’alikomawo gw’alisanga ng’atuukiriza bulungi emirimu gye. Ddala ddala mbagamba nti mukama we alimukwasa okulabirira ebintu bye byonna. (Lukka 12:42-44)
N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo. Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera mina kkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’ “Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’ “Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu. “Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’ “Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’ “Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’ “Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’ “Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi. Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’ “Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga, kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’ “N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’ “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’ “N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako. (Lukka 19:12-26)
Akolimirwa olw'obutaba mwesigwa
Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’ n’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda. Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi, alimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.” (Matayo 24:48-51)
“Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa n’olugero lw’omusajja eyali agenda olugendo, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye. Eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, owookubiri bbiri n’owookusatu emu, ng’ageraageranya ng’okusobola kwa buli omu bwe kwali. Bw’atyo ne yeetambulira. Omusajja eyafuna ttalanta ettaano n’azisuubuzisa n’afunamu ttalanta ttaano endala. N’oyo eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’aviisaamu endala biri. Naye eyaweebwa ttalanta emu, bwe yagifuna n’agenda n’aziika ttalanta ya mukama we mu ttaka. “Awo nga wayiseewo ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo n’akomawo. N’ayita abaddu be bamutegeeze ebyafa ku ttalanta ze yabalekera. Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano n’ajja n’amuleetera ttalanta endala ttaano ng’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano.’ “Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’ “Eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’ajja, n’ategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’ “Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’ “Omusajja eyalekerwa ttalanta emu n’ajja, n’agamba nti, ‘Ssebo, nakumanya nga bw’oli omuntu omuzibu, okungulira gy’otaasigira era okuŋŋaanyiza gy’otaasaasaanyiza. Olw’okutya bwe wagenda ne nkweka ttalanta yo mu ttaka era yiino ttalanta yo.’ “Naye mukama we n’amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi era omugayaavu! Obanga wamanya nti ndi muntu akungulira gye ssaasigira, wanditadde ensimbi zange mu bbanka gye bandimpaddemu amagoba nga nkomyewo.’ “N’alagira nti, ‘Mumuggyeeko ettalanta eyo mugiwe oli alina ttalanta ekkumi. Kubanga alina aliweebwa abe na bingi naye atalina, n’ebyo by’alina ebitono birimuggyibwako. N’omuddu oyo ataliiko ky’agasa mumusuule ebweru mu kizikiza eri okukaaba n’okuluma obujiji.’ (Matayo 25:14-30)
Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ n’adda ku baweereza banne, n’abakuba, n’ebiseera bye n’abimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira, mukama we agenda kudda mu kiseera ky’atamusuubira, amubonereze, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali. “Omuweereza oyo eyamanya mukama we by’ayagala akole, kyokka ye n’atabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene. (Lukka 12:45-47)
N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo. Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera mina kkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’ “Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’ “Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu. “Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’ “Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’ “Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’ “Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’ “Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi. Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’ “Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga, kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’ “N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’ “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’ “N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako. (Lukka 19:12-26)
Eky'okulabirako ky'omuwanika atali mwesigwa
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Waaliwo omusajja omugagga ng’alina omuwanika we amulabiririra ebintu bye. Ne wabaawo abaamuloopera nti omuwanika oyo yali asaasaanya ebintu bye, ng’abidiibuuda. Mukama we n’amuyita n’amubuuza nti, ‘Biki ebyo bye nkuwulirako? Kale genda otegeke lipoota y’ebintu byange nga bwe biri ogindeetere. Omulimu gukufudde.’ “Omuwanika n’alowooza mu mutima gwe, nga yeebuuza nti, ‘Kale kaakano nkole ntya? Mukama wange wuuno angoba ku mulimu. Sirina maanyi galima, n’okusabiriza kunkwasa ensonyi. Ekinaasobozesa abantu okunsembeza mu maka gaabwe, nga bwe ngobeddwa ku mulimu, nkifunye.’ “N’agenda ng’ayita buli eyalina ebbanja ku mukama we. Gwe yasookerako n’amubuuza nti, ‘Ebbanja mukama wange ly’akubanja lyenkana wa obunene?’ ” “Omusajja n’addamu nti, ‘Ammanja endebe z’omuzigo kikumi mu ataano.’ Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa ogende owandiike endebe amakumi ataano.’ “Omuwanika n’adda ku wookubiri n’amubuuza nti, ‘Ggwe obanjibwa ki?’ “N’addamu nti, ‘Ebigera by’obuwunga bw’eŋŋaano kikumi.’ ” “Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa, owandiike endala osseeko ebigera kinaana.’ “Mukama we n’atenda nnyo omuwanika we atali mwesigwa olw’obukalabakalaba bwe. Kubanga abaana b’omulembe guno bagezigezi okusinga abaana b’omusana ab’omu mulembe gwabwe.” (Lukka 16:1-8)
Beera muwulize/noonya Mukama
Emikisa gy'obuwulize/okunoonya Mukama
Bwe munaakwatanga amateeka ago, ne mugagonderanga n’obwegendereza, ne Mukama Katonda wo agenda kukuumanga endagaano ye, gye yakola ne bajjajjaabo ey’okwagala kwe okutaggwaawo. Agenda kukwagalanga, akuwenga omukisa; era alikwaza ne weeyongera obungi. Aliwa omukisa ezzadde lyo n’ebibala eby’oku ttaka lyo, n’emmere yo ey’empeke, ne wayini wo, n’amafuta go, n’ennyana ez’ente zo, n’abaana ab’endiga zo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo, okugikuwa. (Ekyamateeka Olwokubiri 7:12-13)
Naye tewaabeerengawo mwavu mu mmwe kubanga ng’otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugyefunira ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira n’akuyiwangako emikisa gye emingi, kasita onoogonderanga ddala Mukama Katonda wo, n’ogoberera n’obwegendereza ebiragiro bino byonna bye nkuwa leero. Kubanga Mukama Katonda wo agenda kukuyiwako emikisa gye nga bwe yakusuubiza. Amawanga mangi onoogawolanga naye ggwe tojjanga kugeewolako. Onoofuganga amawanga mangi, naye go tegaakufugenga. (Ekyamateeka Olwokubiri 15:4-6)
Bw’onoogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi. Emikisa gino gyonna onoogifunanga n’obeeranga nagyo, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo n’omugonderanga: Onooweebwanga omukisa bw’onoobeeranga mu kibuga ne bw’onoobeeranga mu kyalo. Abaana ab’omu nda yo banaaweebwanga omukisa, n’ebisimbe eby’omu ttaka lyo, n’ebisibo byo ebinaazaalibwanga, Ennyana z’ente ez’amagana go, n’obwana bw’endiga ez’ebisibo byo. Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyizanga, n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga nabyo binaabanga n’omukisa. Onoobanga n’omukisa ng’oyingira era onoobanga n’omukisa ng’ofuluma. Mukama anaakuwanga okuwangula abalabe bo abanaakulumbanga. Banajjiranga mu kkubo limu okukulumba, naye ne basaasaanira mu makubo musanvu mu maaso go nga bawanguddwa. Mukama anaawanga amawanika go omukisa, ne buli ky’onookwatangako engalo zo okukikola anaakiwanga omukisa. Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’akuwa. Mukama agenda kukufuula eggwanga lye ettukuvu nga bwe yakusuubiza n’ekirayiro, bw’onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo n’otambuliranga mu makubo ge. Kale nno abantu ab’omu mawanga gonna ag’ensi balitegeera nga bw’oyitibwa erinnya lya Mukama era banaakutyanga. Mukama anaakugaggawazanga nnyo mu byonna: mu zadde ery’enda yo, ne mu baana ab’ebisibo byo by’onoolundanga, ne mu bibala eby’omu ttaka lyo, ng’oli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa. Mukama alikuggulirawo eggwanika lye ery’obugagga bwe ery’eggulu, n’atonnyesanga enkuba mu ttaka lyo, mu biseera byayo, ne buli kintu kyonna ky’onookolanga anaakiwanga omukisa. Onoowolanga amawanga mangi, kyokka ggwe toogeewolengako n’akatono. Mukama anaakufuulanga mutwe so si mukira. Bw’onoogonderanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo bye nkutegeeza leero, n’obigobereranga n’obwegendereza, onoobanga ku ntikko waggulu, so tookooberenga. Tokyamanga kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, ng’oleka ebiragiro bino bye nkutegeeza leero, n’ogobereranga bakatonda abalala n’obaweerezanga. (Ekyamateeka Olwokubiri 28:1-14)
Noolwekyo mukwatenga ebigambo by’endagaano eno n’obwegendereza, mulyoke muwangulenga mu buli kimu kye munaakolanga. (Ekyamateeka Olwokubiri 29:9)
Bw’atyo Mukama Katonda wo alikugaggawaza mu buli kintu kyonna ky’onookolanga, mu bibala eby’omubiri gwo, ne mu bibala eby’ebisolo byo, ne mu bibala eby’ettaka lyo. Mukama alisanyuka nnyo okukugaggawazanga n’obeeranga bulungi, nga bwe kyamusanyusanga okugaggawazanga bajjajjaabo, ng’ogondeddenga Mukama Katonda wo, n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye ebiwandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka kino, n’odda eri Mukama Katonda wo n’omukyukiranga n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna. (Ekyamateeka Olwokubiri 30:9-10)
Kale laba, olwa leero ntadde mu maaso go obulamu n’okufa. Kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, awamu n’okukwatanga amateeka ge n’okugobereranga ebiragiro bye byonna. Bw’onookolanga bw’otyo ojjanga kuba mulamu era oyale, ne Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’oyingira okugifuna. (Ekyamateeka Olwokubiri 30:15-16)
Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana. (Yoswa 1:8)
...era tambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda wo ng’okwatanga ebiragiro bye, era okwatenga amateeka ge, n’ebiragiro bye n’ebyo by’ayagala, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke obeerenga n’omukisa mu byonna by’onookolanga na buli gy’onoogendanga yonna. (1 Bassekabaka 2:3)
Mukama akuwe amagezi ag’okwawula n’okutegeera ng’okulembera Isirayiri, olyoke okuumenga amateeka ga Mukama Katonda wo. Olwo onoolaba omukisa bw’oneekuumanga ebiragiro n’amateeka Mukama ge yawa Musa ku lwa Isirayiri. Beera n’amaanyi era gguma omwoyo, totya so totekemuka. (1 Ebyomumirembe 22:12-13)
“Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng’awulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (n’abazzukulu) n’abaana ab’obusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna. (1 Ebyomumirembe 28:8)
Sanyukiranga mu Mukama, anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga. (Zabbuli 37:4)
Oluyimba nga balinnya amadaala. Balina omukisa abatya Katonda; era abatambulira mu makubo ge. Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo; oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi. (Zabbuli 128:1-2)
Eby'okulabirako eby'obuwulize n'omukisa
N’anywerera ku Mukama, n’ataleka kumugoberera, era n’akuuma n’amateeka Mukama ge yawa Musa. Mukama n’abeera wamu naye, era n’abeera n’omukisa mu buli kye yakolanga. N’agyemera kabaka w’e Bwasuli, n’agaana okumuweereza. (2 Bassekabaka 18:6-7)
N’agamba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubiteekeko bbugwe, ne wankaaki n’emitayimbwa. Ensi ekyali yaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, n’atuwa emirembe ku buli luuyi.” Ne bazimba era ne bagaggawala. (2 Ebyomumirembe 14:7)
N’amalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda n’amuwa omukisa. (2 Ebyomumirembe 26:5)
Bw’atyo Keezeekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna, n’akola ebirungi era ebituufu n’obwesigwa mu maaso ga Mukama Katonda we. Buli mulimu gwe yatandika mu buweereza mu yeekaalu ya Katonda, ng’agoberera amateeka n’ebiragiro, yanoonyanga Katonda we, era n’akolanga n’omutima gwe gwonna, n’alaba omukisa. (2 Ebyomumirembe 31:20-21)
Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.” Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. (Isaaya 30:22-23)
Ekikolimo ky'obujeemu/obutanoonya Mukama
Awo olunaatuukanga bw’otoogonderenga ddoboozi lya Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye nkulagira leero, kale ebikolimo bino byonna binaakutuukangako ne bibeera naawe: Onookolimirwanga mu kibuga n’okolimirwanga ne mu kyalo. Ekibbo kyo mw’onookuŋŋaanyirizanga n’olutiba lwo mw’onoogoyeranga binaakolimirwanga. Abaana b’enda yo banaakolimirwanga, n’ekibala ky’ettaka lyo, n’ennyana z’amagana go, n’obwana bw’ebisibo byo byonna binaakolimirwanga. Ab’eggwanga ly’otomanyi banaalyanga ebibala by’ettaka lyo by’onoobanga weerimidde, toobengako na kya kukola wabula okutulugunyizibwanga buli kiseera. (Ekyamateeka Olwokubiri 28:15-18, 33)
Ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga ne bikulondoolanga ne bikutuukako okutuusa lwe binaakuzikirizanga olw’obutagonderanga Mukama Katonda wo, n’otokwatanga mateeka ge na biragiro bye, bye yakulagiranga. Binaabeeranga mu ggwe ng’akabonero era ekyewuunyisa gy’oli n’eri bazzukulu bo emirembe gyonna. Kubanga bwe wabeeranga obulungi n’ebintu ebingi, tewaweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima ogujjudde essanyu. Noolwekyo ng’oli mu njala ne mu nnyonta, ng’oli bwereere, ng’oli mwavu lunkupe, ojjanga kuweerezanga balabe bo, Mukama b’anaakusindikiranga okulwana naawe! Anaakwambazanga mu bulago bwo ekikoligo eky’ekyuma okutuusa lw’alikuzikiririza ddala. Nga bwe kyasanyusanga ennyo Mukama okubagaggawazanga n’okubaazanga mweyongerenga obungi, bwe kityo kinaamusanyusanga okubaavuwazanga n’okubazikirizanga. Olisimbulwa n’oggibwa mu nsi gy’ogenda okuyingira okugirya. (Ekyamateeka Olwokubiri 28:45-48, 63)
Kale laba, olwa leero ntadde mu maaso go obulamu n’okufa. Kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, awamu n’okukwatanga amateeka ge n’okugobereranga ebiragiro bye byonna. Bw’onookolanga bw’otyo ojjanga kuba mulamu era oyale, ne Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’oyingira okugifuna. Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n’otowulira, era bw’onoosendebwasendebwanga okusinzanga bakatonda abalala n’okubaweerezanga, mbalangirira leero nti, Mugenda kuzikirizibwa; era temuliwangaala mu nsi gy’ogenda okusomokera omugga Yoludaani okugiyingira okugifuna. (Ekyamateeka Olwokubiri 30:15-18)
Omuntu yenna ataligondera tteeka lya Katonda wo, n’etteeka lya Kabaka aliweebwa ekibonerezo kya kuttibwa, oba okugobebwa mu bantu, oba okuggyibwako ebibye, oba okusibibwa mu kkomera.” (Ezera 7:26)
Eky'okulabirako eky'obujeemu n'ekikolimo
Ne bava ku Mukama ne basinza ba Baali ne Asutoleesi. Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo. (Balam 2:13-14)
Yekolaamu n’afuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ng’egamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olw’obutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda, naye n’otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri, n’oleetera Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi obutaba beesigwa, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, era n’otta ne baganda bo ab’ennyumba ya kitaawo, abaali bakusinga empisa, Mukama kyaliva aleeta kawumpuli ow’amaanyi, ku bantu bo, n’abaana bo, n’abakyala bo, ne ku bintu byo byonna, Awo Mukama n’asitusa obusungu bw’Abafirisuuti n’Abawalabu abaabeeranga okumpi n’Abaesiyopiya eri Yekolaamu, ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we n’omu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda. (2 Ebyomumirembe 21:12-14, 16, 17)
Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ” (2 Ebyomumirembe 24:20)
Mu byonna ebitutuukako, wali wa bwenkanya, era omwesigwa naye ffe nga tukola bibi byereere. Bakabaka baffe, n’abakulembeze baffe, ne bakabona baffe, ne bajjajjaffe, tebaagobereranga mateeka go, nga tebassaayo mwoyo ku biragiro byo newaakubadde nga wabalabulanga. Ne bwe baali mu bwakabaka bwabwe, nga basanyuka nnyo, mu nsi engazi era enjimu, tebaakuweerezanga newaakubadde okukyuka okuleka amakubo gaabwe amabi. “Laba, tuli baddu leero, abaddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe okulya ebibala byamu n’ebirungi ebirala by’ereeta. (Nekkemiya 9:33-36)
Kubanga abasumba bafuuse ng’ensolo tebakyebuuza ku Mukama. Noolwekyo tebakulaakulana era endiga zaabwe zonna zisaasaanye. (Yeremiya 10:21)
Ate era waddira emikuufu emirungi gye nnali nkuwadde, egyakolebwa mu zaabu n’effeeza bye nakuwa, ne weekolera bakatonda abalala abali mu bifaananyi eby’ekisajja, bw’otyo n’okola eby’obwenzi nabyo, n’oddira ebyambalo byo ebiriko emidalizo n’obibikkako, n’oteeka omuzigo gwange n’obubaane bwange mu maaso gaabyo. N’emmere gye nnali nkuwadde, obuwunga obw’obutta, n’omuzigo ogw’omuzeyituuni n’omubisi gw’enjuki bye nnali nkuwadde okulya, wabiwaayo okuba ebiweebwayo eby’evvumbe eddungi eri bbyo. Era bw’otyo bwe wakola, bw’ayogera Mukama Katonda. N’oluvannyuma ndikuwaayo mu mukono gw’abaganzi bo; balimenyaamenya ebifo byo ebigulumivu, ne bazikiriza amasabo go. Era balikwambula ebyambalo byo, ne batwala eby’omuwendo byo, ne bakuleka ng’oli bukunya. (Ezeekyeri 16:17-19, 39)
“Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo n’erekebwa nga kifulukwa?” Kale nno bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.” Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bw’ayogera Mukama. “Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde. Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n’ettaka n’okuleeta ne litaleeta bibala byalyo. Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.” (Kaggayi 1:4-11)
“ ‘Kale nno, mweddeko okuva ku lunaku lwa leero, mujjukire ebiseera biri bwe byali, nga n’ejjinja erimu terinnateekebwa ku linnaalyo mu yeekaalu ya Mukama. Omuntu yenna bwe yatuukanga ku ntuumu eyandibadde ey’ebipimo amakumi abiri, yassangawo ebipimo kkumi. Omuntu yenna bwe yalaganga mu ssogolero okusenamu lita amakumi ataano, yasangangamu amakumi abiri. Nakolimira emirimu gyonna egy’emikono gyammwe n’okugengewala n’obukuku, n’omuzira, naye ne mutakyuka kudda gye ndi,’ bw’ayogera Mukama. (Kaggayi 2:15-17)
Wesige Mukama, so si ffe ffekka oba ebintu
Emikisa/okugaggawala eri abo abeesiga Mukama
Mutendereze Mukama! Alina omukisa omuntu atya Katonda, era asanyukira ennyo mu mateeka ge. Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi; era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna. (Zabbuli 112:1, 3)
Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama. (Engero 22:4)
Omuntu ow’omululu aleeta oluyombo, naye oyo eyeesiga Mukama aligaggawazibwa. (Engero 28:25)
Ebiva mu kwesiga ffe ffekka oba ebintu byaffe
Oyo eyeesiga obugagga bwe aligwa, naye abatuukirivu banaakulaakulananga ne baba ng’amalagala amalamu. (Engero 11:28)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge, era alina omutima oguva ku Katonda. Aliba ng’ekisaka mu ddungu, ataliraba birungi bwe birijja, naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey’omunnyo omutali abeeramu. (Yeremiya 17:5-6)
Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe, nammwe mulitwalibwa ng’abaddu, ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse awamu ne bakabona be n’abakungu be. (Yeremiya 48:7)
Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe, ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu? Ggwe omuwala atali mwesigwa, weesiga obugagga bwo n’ogamba nti, ‘Ani alinnumba?’ Ndikuleetako entiisa, okuva mu abo bonna abakwetoolodde,” bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye. “Buli omu ku mmwe aligobebwa, era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka. (Yeremiya 49:4-5)
Tulibalibwa olw'obuwanika bwaffe
“Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa n’olugero lw’omusajja eyali agenda olugendo, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye. “Awo nga wayiseewo ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo n’akomawo. N’ayita abaddu be bamutegeeze ebyafa ku ttalanta ze yabalekera. (Matayo 25:14, 19)
Mukama we n’amuyita n’amubuuza nti, ‘Biki ebyo bye nkuwulirako? Kale genda otegeke lipoota y’ebintu byange nga bwe biri ogindeetere. Omulimu gukufudde.’ (Lukka 16:2)
Noolwekyo kyetuva tunoonya oba nga tuli ewaffe oba nga tetuli waffe, tumusanyuse. Kubanga ffe ffenna kitugwanira okulabika mu maaso g’entebe ya Kristo ey’okusalirako omusango, buli muntu asalirwe olw’ebyo bye yakola ng’akyali mulamu, okusinziira ku ebyo bye yakola oba birungi oba bibi. (2 Abakkolinso 5:9-10)
Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. Ne ndaba abafu abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, n’ekitabo ekirala ky’ekitabo eky’obulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ng’ebikolwa bye bwe byali. (Okubikkulirwa 20:11-12)